Luke 18:31-33

Yesu Ayongera Okwogera ku Kufa kwe

31 aAwo Yesu n’azza ku bbali ekkumi n’ababiri, n’abagamba nti, “Laba, twambuka e Yerusaalemi, era bwe tunaatuuka eyo, byonna bannabbi bye bawandiika ku Mwana w’Omuntu, bijja kutuukirizibwa. 32 bAjja kuweebwayo eri Abamawanga okukudaalirwa n’okuvumibwa. Balimuduulira, ne bamubonyaabonya, ne bamuwandira amalusu, 33 cbalimukuba era ne bamutta. Ne ku lunaku olwokusatu alizuukira.”

Copyright information for LugEEEE